Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Omulambo gw’omulambuzi eyafiiridde mu biyiriro by’e Kalagala guzuuliddwa

Ba lubbira ba Poliisi nga bano bayambibwaako ebitongole bya Poliisi okuli eky’okumazzi wamu ne kizinya mwoto wamu ne balubbira okuva mu bitongole ebirala kyadaaki basobodde okunyululayo omulambo gw’omulambuzi eyaggwa mu mugga Kiyira nafiiramu.

Omulambuzi ono Asubale Nasser nga munnansi w’eggwanga lya Saudi Arabia kigambibwa nti ye ne banne abalala ababiri babadde bazze okulambula ebiyiriro bye Kalagala ebisangibwa mu gombolola ye Kangulumira mu Disitulikiti y’e Kayunga ye bwaatyo nalugulamu obulamu oluvannyuma lw’okulinnya ku jjinja eriseerera nga ate mu kifo kino amazzi gaduka nnyo.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort