Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 921 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

UNBS etutte Drake Lubega mu Kkooti

September 25, 2019 · Mubiru Ali
Omusuubuzi w’omu Kampala Drake Lubega alagiddwa okusasula engasi yabukadde 60 lwa kkampuni ye kukola buveera obutaweza microns 30. Ono era alagiddwa okuwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards UNBS ensimbi obukadde bubiri mu emitwalo 60 zikozesebwe okwokya carton z’obuveera 196. Lubega yasuze ku meere e Luzira oluvannyuma lwokukiriza emisango ebiri okuli okufulumya obuveera obutali ku mutindo wamu n’okukozesa akabonero ka UNBS ku bintu ebitali ku mutindo.
Ono asimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi Marion Mangeni owa kkooti ya Standards, Utilities and wildlife court etuula ku Kkooti ya Buganda Road .