Omulabirizi Kityo Luwalira akaayuukidde ababaka ku kkomo ly’emyaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe,  The Right Rev. Wilberforce Kityo Luwalira asabye Palamenti okulaba nga ewuliriza eddoboozi ly’abantu ku bikwata ku nnongoosereza mu Ssemateeka omuli okuggyawo ekkomo ly’emyaka omukulembeze w’eggwanga kw’afugira awamu n’okyokuwa Gavumenti enkizo okwezza ettaka ly’obwannannyini okulikulaakulanya nga tesoose kuliyirira bannyiniryo .

Omulabirizi okwogera bino asinzidde ku Lutikko e Namirembe bw’abadde okulembeddemu okusaba enkya ya leero,  Luwalira n’agamba nti ensonga zino ebbiri singa tezikwatibwa nabwegendereza ziyinza okusuula eggwanga mu ntata.

“Bannaffe ababaka baffe mutusaasire, ebintu ebyo biyinza okusuula eggwanga lino mu katyabaga,  ettaka n’ekyo eky’emyaka nga muteesa, nga mugitigiinya. Muwulirize Bannayuganda kyetugamba “. Omulabirizi Kityo Luwalira.

Luwalira era asoomoozezza Gavumenti ku ttemu erikyase ennyo mu bitundu by’e ggwanga eby’enjawulo,  agamba nti yeewuunya kino ekiriwo ku bitongole ebikessi ebiri mu ggwanga.

Share.

Leave A Reply