Omukuumi wa kkampuni ya G.K.O akubiddwa amasasi bwabadde amenya bbanka
Omukuumi wa Kkampuni eyobwannanyini eya G.K.O Security Company ategeerekese nti ye Emmanuel Okao akubiddwa amasasi agamutiddewo enkya yaleero bwabadde agezaako okumenya ayingira bbanka ya Diamond Trust ettabi ery’e Wakiso.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi ya Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategeezezza nti munne bwebabadde Justine Okello 27, ye akwatiddwa oluvannyuma lwokwewaayo eri abarisikale ba Uganda Police Force. Poliisi ezudde emmundu 2 zebabadde nazo.

