Omukazi akwatiddwa n’ebiragalalagala ku kisaawe

Poliisi ku kisaawe Entebe ekutte  omukyala Rodriguez Fagundez Albelys Doralys 24 munnansi wa Venezuela n’ebiragalalagala ku kisaawe nga abiyigiza Uganda.

Ono okukwatibwa kidiridde Poliisi okutemezebwako bambega nti nga 17 – June – 2018 waliwo omusaabaze nga ava Sao Paulo mu Brazil eyalinnya ennyonyi Ethiopian Airline Nnamba ET 507 nga edda Addis Ababa okugenda e Nairobi wabula nakyuusa olugendo okudda ku kisaawe Entebe nga kirowoozebwa nti yali alina ebiragalalagala byatambuuza. Ono yakwatiddwa nga yakava ku nnyonyi ya Ethiopian Airline E338 ensawo ye nekeberebwa wabula teyasangiddwamu kintu kyonna.

Ono yatwaliddwa mu scan eyalaze nti alina byeyamize nga biri mu lubuto era bwatyo natandika okwetegerezebwa era oluvannyuma yafulumye Pellets 114 nga ziweza grams 1660 ezirowoozebwa nti za njaga.

Ono agamba bweyali mu Gavion Super market mu Sao Paulo mu Brazil gyabadde akolera nga 15 – June – 2018 waliwo omusajja omu gweyamanyaako erya Antonio yamusuubiza okumufunira omulimu bwatyo namutwala mu maka agamu mu Villa Yolanda e Sao Paulo nebamuwaliriza okumira Pellets zino era nebamuwerekera okutuuka ku kisaawe weyalinyira ennyo eyamutuusa e Addis Ababa.

Yabadde alina okutuukira mu Alcom Hotel e Kibuli Uganda omuntu omu gwatamanyi mannya gyeyabadde alina okumusisinkana. Agamba yasasuddwa Dollar 2,000.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Amabanja gaggazzaawo Nakumatt e Mbarala