Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 353 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

munyagwa wakukwatibwa singa talabikako mu kkooti – mulamuzi Pamela Lamunu

March 6, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi omukulu owa Kkooti evunaana abakennuzi wamu nabali b’enguzi Pamela Lamunu avuddeyo nategeeza nga bwagenda okuyisa ekibbaluwa kibankutumya ekikwata Omubaka wa Kawempe South Mubarack Munyagwa Sserunga olwokwebulankanya emirundi egiwerako nga talabikako mu kkooti okwewozaako ku misango gy’okulya enguzi egimuvunaanibwa.

Munyagwa avunaanibwa omusango gw’okufuna ensimbi obukadde 100 okuva Francis Kakumba nga amusuubizza okufunira mutabani we Muyanja Isaac ekifo ku kakiiko ka Kampala Capital City Authority Land Board nga akiikirira Kawempe. Ono yabadde asuubirwa mu kkooti olunaku lwaleero wabula munnamateeka we Chrysostom Katumba yalabiseeko nategeeza kkooti nga omuntu we bwatali mu Ggwanga.