Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 874 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Omuduumizi wa Poliisi y’e Kireka apondoose nakiriza okuzza ekizibiti

April 18, 2019 · Mubiru Ali

Omuduumizi wa Poliisi y’e Kireka Nicholas Muyonjo apondoose nakiriza okuzza ekizibiti eky’obukadde 17 ezaali eza Micheal Dean Omoit. Muyonjo yakwatibwa nebanne okuli William Kawooya, so nga ye omusirikale omulala gwebalina okuvunaanibwa naye Joshua Jagule yatoloka.
Omoit agamba nti bano bamwegayiridde nga bayita mu Munnamateeka we nga baagala abasonyiwe babate bagende baleete ssente zino bazimudizze. Bano bateereddwa ku kakalu ka Poliisi.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti bano bakutwalibwa mu kakiiko akakwasisa empisa mu Poliisi bannyonyole.