Omubiri gwa ‘katonda’ Desteo Bisaka Owobusobozi ‘omukama ruhanga’ 91, guziddwa mu Yuganda okuva mu kibuga Nairobi ekya Kenya gyeyafiira nga 14-January negutwalibwa e Kagadi.
Gutwaliddwa mu Nnyonyi ekika kya namunkanga eyamaggye nga gukimiddwa ab’oluganda ababadde bambadde ebyeru ku kisaawe kya Kapyemi grounds.
Ono abadde amanyiddwa nnyo mu kugatta abantu wansi w’omulamwa “Okwahukana Kuhoireho”.
Omubiri gwa Nabbi Bisaka guziddwa mu Yuganda
Share.