Omubaka wa Bukoto East aduukiridde abaayo n’akawunga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omubaka omukyala akiikirira Bukoto East Constituency mu Disitulikiti y’e Masaka Namayanja Florence adduukiridde abavubi n’abantu ababadde babeera ku mwalo gw’e Bukakata ne ttani z’obuwunga 4.
Abantu bano abasoba mu 10000 nga kati kumpi bali mukubundabunda basenguddwa ku mwalo gw’e Bukakata oluvannyuma lw’enyanja okujjula nebooga amayumba gonna negabulira mu mazzi. Bano batwaliddwa ku kyalo ekimanyiddwa nga kussatu.
Omubaka Namayanja obuwunga abukwasiza RDC wa Masaka Ssentongo Herman akulira akakiiko ka #COVID-19 Task Force era namusaba nti obuwunga bugende mu Bantu abo bubayambeko mu kiseera kino ekizibu enyo.
Namayanja era asabye n’Abantu bonna abazimba saako n’abalimira ku mbalama z’ennyanja okuzaamuka kuba bebaleetedde emyalo gyonna okujjula negibooga, abasabye okuwuliliza omulanga gwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, kyokka neyennyimira olwa Nabbi Kakande Samuel nti ono yalemera ddala okuwuliriza omulanga gw’obutalimira mu ntobazi nga kwotadde nokusanyawo ebibira.
Bya: Maggie Kayondo.

Share.

Leave A Reply