Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 311 listening Simba FM Live

Agambibwa okufumita aba KCCA akambe aleeteddwa mu kkooti nga tasobola kuyimirira

July 21, 2020 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Miriam Akello alagidde abasirikale ba Uganda Police Force okuzzaayo omusibe Juma Akankwasa omutembeeyi agambibwa okufumita abasirikale ba Kampala Capital City Authority – KCCA 2 akambe mu Ppaaka ya takisi empya.
Akankwasa aleeteddwa mu kkooti nga azimbye eriiso nga tasobola yadde okuyimirira nga kigambibwa nti yakubwa bubi nnyo.
Omulamuzi ategeezezza nti tasobola kumusomera misango olw’embeera gyabaddemu nga alina ebiwundu n’eriiso erizimbye.