OMUBAKA VIOLET AKURUT BAKAZI KATAKWI ADDIZIDDWA EKIFO KYE

Kkooti ejjulirwamu ezizza Omubaka omukyala owa Katakwi Violet Akurut nga emenyawo ekiragiro kya kkooti enkulu e Soroti eyali esazizaamu okulondebwakwe nga egamba nti teyalekulira kifo kye nga omukozi wa gavumenti mu Uganda Human Rights Commission.

Abalamuzi basatu mu kkooti ejjulirwamu nga bakulemberwa Steven Kavuma bawakanyiza okusalawo kwa David Wangutusi nga agamba nti Akurut yalina okulekulira ekifo kye mu naku kyenda nga tanewandiisa kwesimbawo nga bagamba nti Commisioner tabeera Mukozi wa gavumenti.

Abalamuzi bakkanyiiza nti Akurut si mukozi wa Human Rights Commission nabwekityo tatwalibwa kuba mukozi wa Gavumenti.

Kkkoti egamba nti Akurut Vioet mukyiise wa Abakyala be Katakwi era neragira Simon Peter Emorut omulunzi eyasaayo okwemulugunya okusasula ensimbi zonna Akurut zakozesezza mu musango guno.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

69 4 instagram icon