97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Omubaka Paul Nsubuga ali mu kattu SACCO emubanja

Omubaka wa Palamenti akiikirira Busiro North mu Disitulikiti y’e Wakiso Paul Nsubuga ali mu kattu oluvannyuma lwa Bannakibiina kyobwegassi ekya Kakiri Naddangira Agaliawamu SACCO okuvaayo nebekubira enduulu nga bagamba nti ono yewola ensimbi obukadde 40 okuva mu SACCO yaabwe mu mwaka 2022 neyeyama okuzisasula mu myezi 6 wabula nga kati giweze emyaka 2 bweddu agaanyi okusasula nga bwebamugambako abajerega. Wabula ne Maama w’Omubaka ono Agnes Nabawanuka 60 avuddeyo ngalumiriza mutabani we Nsubuga okusinga ekyapa ky’ettaka lya Famire mu bbanka era kati awaka wasulirira kutwalibwa.
Bya Ssaabwe Fred Mugabi

Leave a Reply