Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Ababaka ba Opposition abaagala okugolagana ne NRM temukukuta – LOP Mpuuga

November 17, 2023 · Mubiru Ali
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo ku Babaka abali ku ludda oluvuganya Gavumenti wabula nga bano bateetera ne Gavumenti nabasaba baveeyo mu lwatu begatte ku National Resistance Movement – NRM okusinga kwebuzaabuza.
Mpuuga agamba tebalina bwebayinza kutuukiriza bigendererwa bya ludda luvuganya ngโ€™ate mulimu abakukuta ne Gavumenti ng’ate bakimanyi bulungi nti ebigendererwa by’enjuyi zombi byanjawulo nnyo.
Ono ategeezezza nti ekiseera kituuse Ababaka ab’engeri eyo bagende ewa Nnampala wa Gavumenti abateeke mu bitabo bye bawone okubeera ba kirumira mpuyi bbiri.