Omubaka Nsereko yeerayiridde obutaddayo ku CID e Kibuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omubaka mu Palamenti ow’amasekkati ga Kampala,  Muhammad Nsereko yeerayiridde obutaddayo ku kitebe kya Police ekikola ku Kunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli ku byeyayogera ku kuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Nsereko bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku kizimbe kya Palamenti mu Kampala,  agamba nti Police yafuna byonna byeyali emwetaaza lweyagendayo mu ssabbiiti ewedde era nti ye tolaba nsonga emuzzaayo.

Akoonye ku Minisita Nadduli ne Chris Baryomunsi abaliko nabo byeboogedde ku kkomo ly’emyaka naye bali mu maka gaabwe beegiriisa.

Share.

Leave A Reply