97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Omubaka Malende asisinkanye Abakyala b’e Kibuli

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende olunaku lweggulo yalumaze asisinkana bibiina by’Abakyala ebyokwekulaakulanya e Kibuli mu Makindye.
Bateesezza ku nsonga eziwerako omuli; obuli bw’enguzi, ekiwamba bantu, emisolo egisukiridde n’ensonga ezekuusa ku kulaakulanya omukyala.
Bamaama abasulirira okuzaala yabatonedde Mama kits era nabawaayo nakakadde 1 bakateeke mu kibiina kyabwe okwongera okwekulaakulanya.
Abakyala basiimye emirimu gyakola naddala okuyamba abatalina mwasirizi mu byamateeka era nebamutonera enkoko na matooke.

Leave a Reply