Omubaka Kabanda ez’ekkomo ly’emyaka asazeewo kuziguliramu balonzi butebe

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omubaka omukyala mu Palamenti owa Disitulikiti y'e Masaka, Hon. Babirye Kabanda ye asazeewo okuddira ssente obukadde 29 oz'okwebuuza ku balonzi ku ky'ekkomo ly'e'myaka gya Pulezidenti azigulemu obutebe obukozesebwa  ku mikolo. (plastic chairs.)
 
Kabanda y'omu ku babaka mu Palamenti  abawakanya eky'okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga era nga mu kino, Palamenti eggulo lweyafulumizza obukadde abiri mu omwenda eri buli mubaka y'ebuuze ku balonzi mu kitundu kye. 

Wabula kino wekibeereddewo nga ababaka abasinga abawakanya eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti nga baawera nga bwebagenda okuzzaayo ensimbi zino gyezaasvudde era nga wetwogerera ababaka mukaaga nga bakulirwamu n'ampala w'ababaka mu Palamenti ab'oludda oluvuganya Gavumenti, Hon. Ibrahim Ssemuju  Nganda baazizizzaayo eggulo  okuggyako Kabanda asazeewo okuziguliramu abalonzi obutebebe ku buli kyalo .                                                                                                                                                                                                                                                                       

 

 

 

Share.

Leave A Reply