Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 114 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

8 basingisiddwa ogw’okutega bomu mu Kampala

May 26, 2016 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Alphonse Owiny – Dollo asingisizza abasajja munaana omusango gw’okutega Bbomu ate abalala 5 bejjerezeddwa .

Mubasingisiddwa mulimu Hassan Hussein Agende, Idris Magundu, Isa Ahmed Luyima Habib Suleiman munnamawulire wa Kenya , Njoroge ne Hassan Haruna Luyima , Muhammad Ali ne Suleiman Nyamadondo . Bano basingisiddwa gwa butemu nakugezaako kutta .

Wabula ate mubejjeerezeddwa mulimu bannayuganda babiri  Ismail Kalule ne Abubaker Batemyeto, bannakenya mulimu Yahaya Suleiman Mbuthia, Omar Owadh Omar ne Muhamed Suleiman Ahmed.

Ye owe 13 Muzafar Luyima avunaanibwa gwa kukukusa nakukweka baganda be Isa ne Haruna abaali bazzizza emisango .

Omulamuzi awadde olunaku lw’enkya nga lwagenda okusalira abasingisiddwa ebibonerezo  .