Omubaka akiikirira abakozi Byakatonda asimbiddwa mu Kkooti
Omubaka akiikirira Abakozi mu Palamenti Dr. Abdulhu Byakatonda asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Jalia Basajjabalaba navunaanibwa omusango gwokufuna ssente mu lukujjukujju eziwereza ddala emitwalo 22 egya ddoola.
Byakatonda akwatiddwa nga yakamala okwewandiisa okuddamu okwesimbawo natwalibwa mu Kkooti ya Buganda Road wakati mu bukuumi obwamaanyi.
Oludda oluwaabi lugamba nti ono bweyali ngakola nga Ssentebe wa Divestiture Committee of the Departed Asians Property Custodian Board, Byakatonda yajja ensimbi emitwalo gya ddoola 22 okuva ku musuubuzi Asuman Nkambwe mu July wa 2019 namugamba nti ssente zino zaali za musingo ku bizimbe ebyali ku Martin Road ne Rashid Road mu Kampala.

