OLEMEDDWA OKULEETA AGAMBA NTI YE NNANNYINI BIWANDIIKO BYA WAKAYIMA – KKOOTI

OLEMEDDWA OKULEETA AGAMBA NTI YE NNANNYINI BIWANDIIKO BYA WAKAYIMA – KKOOTI:
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Henrietta Wolayo agobye omusango gwebyokulonda ogwawabibwa Hamis Musoke Walusimbi ngawakanya okulondebwa kw’omubaka wa Nansana Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hannington Musoke Nsereko Wakayima nga agamba nti talina buyigirize bumala.
Omulamuzi Wolayo agamba nti guno omusango munafu nnyo kuba ono ebiwandiiko byobuyigirize Wakayima byeyawaayo ebya UCE, UACE ne Diploma mu Secondary Education eya ITEK byakakasibwa ebitongole ebibivunaanyizibwako nti era byali bituufu.
Omulomuzi ayongeddeko nti Wakayima yagenda mu maaso nakuba ekirayiro bweyali ayongerako amannya amalala okuva ku Musoke Hannington nayongerako Wakayima.
Omulamuzi agamba nti era Walusimbi yali agamba nti amannya agali ku biwandiiko bye tebikwatagana naye tewali bujulizi bwonna bulaga nti waliwo omuntu eyavaayo okukayanira ebiwandiiko bino nti bibye wadde omuntu yenna agamba nti amanyi Musoke Hannington gwagamba nti ye nnanyini biwandiiko bino.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply