Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Okukulira mu bwavu kye kyanfuula kyendi – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bweyabadde ayogera mu lukungaana lwa Rainbow PUSH Coalition Annual Conference e Chicago, USA; “Soogera nga omukugu mu tteeka ly’eddembe ly’obuntu, wabula ndi muntu wabulijjo mu nsi muno eyazaalibwa n’enkulira mu ghetto e Kamwokya mu Yuganda. Eyo gyenva. Obuvumu n’okwagala okulwanirira eddembe ly’abantu tekyava mu kibiina ku ssomero, wabula kyatandikira ku mbalaza, wamu n’embeera mwe nakulira ey’obwavu ddala nga y’embeera eri mu Yuganda. Abo be bantu abasinga okunyigirizibwa naddala mu ddembe lyabwe.
Nkimanyi bangi ku mmwe wano mu manyi nekyenayitamu nga ntulugunyizibwa wamu n’okulinyirira eddembe lyange ab’ebyokwerinda mu Yuganda. Nsiima, wabula nnyongera okukinogaanya nti wadde nga embeera gyenayisibwamu yali mbi nnyo, wabula ekyo kyali kituuza kuba abasajja n’abakyala bangi abakwatibwa buli lunaku mu ewaffe. Bangi bakwatiddwa nebabuzibwawo.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort