Obuwanguzi bwa Bannayuganda bwanyagibwa – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti obuwanguzi bwebasinze okutuukako mu mwaka 2021 kwekwanika Pulezidenti Museveni ensi yonna nemanya nti si malayika nga bwekyali kirowoozebwa.
Bino abiyisizza mu bubaka bwe obw’omwaka bwasindikidde Bannayuganda nategeeza nti Bannayuganda kati bebereramu kabe mwana muto, muvubuka oba mukadde era baagala okumanya ekikwata ku ggwanga lyabwe. Hon. Kyagulanyi ayongedde okukittaanya nga obuwanguzi bwa Bannayuganda bwebwanyagibwa mu kalulu ka 2021.
Hon. Kyagulanyi yeebazizza abawagzi be abawano nebweru w’eggwanga abavuddeyo okulaga obutali bumativu bwabwe nga bategeka okwekalakaasa okw’eddembe, okuloopa okutulugunyizibwa n’okulinyirira eddembe ly’obuntu wamu n’okuvugirira ‘struggle’.
Share.

Leave A Reply