Breaking
News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 390 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Kitalo! Abantu 10 bafiiridde mu kabenje e Bugiri

March 12, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka M. Kananura avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo akabenje akagudde akawungeezi k’engulo nga baddemu emotoka 6 e Kibimba nga wakava ku lutindo lwa Iganga-Tororo mu Disitulikiti y’e Bugiri okukakkana ngabantu 10 bafiiriddewo mbulaga.
Kigambibwa nti emotoka 10 zabadde zoolekera oludda lwerumu okuleka tuleela nnamba KAE254X/ZA 5971 ne KBJ155C/ZD2621, Mercedes Benz, yo yabadde eyolekera Iganga.
Takisi nnamba UAW963M yagezezzaako okuyisa emotoka endala 9 wabula ddereeva nalengera emotoka eyabadde emuva mu maaso nayagala agiyisize ku kataka kyatategedde nti yabadde tuleela esika ekyana okukkakana nga atomedde ekyana kyeyabadde esika nekigwa nekikwata omuliro, abantu 10 nebafiirawo, 8 ngababadde basaabaze takisi, ddereeva wa takisi wamu n’owa tuleela.