Obubenje obwaggwa e Kiryandongo mu mwezi ggwa May mwafiiramu abantu 33

Poliisi egamba nti obubenje bwonna obugudde mu district y’e Kiryandongo ku luguudo lw’e Kampala – Gulu mu mwezi gumu butugumbudde abantu 33.

Julius Hakiza nga ye Mwogezi wa Poliisi mu kitundu ky’e Albertine agamba nti abantu okufa ky’ava ku bubenje 6 obwali obw’amaanyi obwaggwawo, nga busatu ku bbwo bwali bw’amaanyi nnyo mu kitundu ky’oluguudo luno ekiri mu Kiryandongo.

Akabenje akasinga ku bwonna kubwonna ke kaali wakati w’emotoka 3 omwali Bus ya kkampuni ya Gaagaa nnamba UAK 562L, lukululana nnamba UAT 088J/UAT 321M ne Tractor nnamba UAU 872M ku kyaalo Nanda Kilo metres 12 okuva mu kabuga ke Karuma.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Amaanyi ku Ssemateeka gali mu Bannansi – Omulamuzi Kakuru