Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 756 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Eyatta muganzi we akaligiddwa emyaka 30

November 22, 2023 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Henry Kaweesa Isabirye e Mukono awadde Mathew Kirabo ekibonerezo kyakusibwa myaka 30 mu kkomera e Luzira oluvannyuma lwokuzuulibwa nti yatta muganzi we Desire Mirembe 19 mu 2015 nga yamusala mumiro, omulambo ggwe nagusuula mu nsiko.
Bwabadde amuwa ekibonerezo eky’emyaka 30 ategeezezza asinzidde ku nsonga nti Kirabo gwe mulundi gwe ogusoose okuzza omusango nga nabwekityo asobola okuweebwa omukisa okukyuuka. Wabula ku kibonerezo kio kkooti etoddeko omwezi 1 nenaku 7 Kirabo zamaze ku alimanda nga bwatyo agenda kukola ekibonerezo kya myaka 29, emyezi 10 nenaku 27 mu kkomera e Luzira.