Obubbi obuli mu NRM tebugambika nzijja nga Independent – Racheal Magoola
Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Bugweri Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Rachel Magoola eyawangula mu kamyuufu najjulira mu kakiiko akateekebwawo okwekeneenya emivuyo egyaliwo awakanyizza byekasazeewo. Ono agamba nti emivuyo egyali mu kamyuufu ate gyegimu egyeyolekedde ne mu Kakiiko kano, nga tebawuliriza nabalonzi wabula bagoberera biwandiiko ebyaleetebwa byagamba nti byali biningirire.
Ono alangiridde nga bwagenda okuvuganya ku bwa namunigina bafaafagane noyo gwagamba nti yamubba abalonzi basalewo.
Bya Willy Kadama

