NRM egulirira abalonzi mu Omoro – Aba Opposition

Ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya Gavumenti bivuddeyo nebirumiriza ekibiina kya National Resistance Movement NRM nga bakirumiriza okugulirira abalonzi nga beteekerateekera okulonda okwokubeerawo nga 26-May.
Abantu 6 bebavuganya ku kifo ky’omubaka anadda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah eyafa nga 20-March-2022. Bano kuliko; Simon Toolit Akecha owa National Unity Platform (NUP), Andrew Ojok Oulanyah (NRM), Oscar Kizza (Alliance for National Transformation), Terrence Odonga, Jimmy Walter Onen, ne Justine Odong Forum for Democratic Change (FDC).
Abamu ku bavuganya bagamba nti okuva okunoonya akalulu lwekwatandika, abakulu mu kibiina kya NRM bagumba mu Omoro olwo nebatandika okugaba ssente buli Ojok akwatidde ekibiina kya bbendera wabeera akubye olukuŋŋaana.
Akecha agamba nti balina obujulizi obuluma abakungu ba NRM nga balabiddwako emirundi mingi nga bagaba ssente. Ono agamba nti ssente basinze kuziwa bibiina by’abakyala nga buli kimu bakiwa lwakiri akakadde 1 buli webakuba olukuŋŋaana.
Akecha ayongerako nti buli gwebawa T-shirt bamuweerako ne ssente wabula ono asabye abantu okulya ssente kuba zaabwe naye ekyokukola bakimanyi.
Ku kyalo Te-Olam, mu Odek Sub-County ku lunaku olwaggulawo okunoonya akalulu, ttiimu ya Ojok yaleka akakadde kamu mu emitwalo 20 eri abawagizi bazigabane.
Ne mu byalo ebirala okuli; Te-Ober, Lwala Parish Odek sub-county nga 17 May, Binya Central mu Binya, Oropwoyo sub-county nga 18 May ne ku kyalo Ocok mu Kec Okela parish, Akidi sub-county nga 20 May.
Wabula Emmanuel Dombo, NRM director wa communications bino yabyegaanye nagamba nti abawagizi babagulira sooda n’amazzi nti era embalirira bwekiriza babawa ez’entambula.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply