Nkyebuuza abasajja gyebajja obusunga okunkuba bati – Kyagulanyi

Omubaka wa Kyaddondo East Kyagulanyi Robert Ssentamu ayogera ku byamutuukako nga akwatibwa;

Nasigala mu Room mwenesibira okumala akabanga akawerako era nawuliranga abasirikale nga basikasikanya omukazi okuva mu room ye nga bamubuuza Bobi Wine ali mu Room ki. Omukazi yakanda kubagamba nti simanyi gyali nga bongera kumukuba. Namuwuliranga nga yegayirira nga bwasaba n’obuyambi nga bamukulula ku madaala. N’okutuusa olunaku olwaleero amaloboozi gano ngawulira era kinuma nti sasobola kuyamba mukyala ono kuba nange nali mu buzibu.

Nasigala mu kifo kimu okumala ebbanga eriwerako nga mpulira abasirikale betala nga bwebakuba enzigi, mu biseera ebimu nasumagiranga wabula nga nsisimulwa abasirikale abaali nga betala ekiro kyonna. Wabula obudde bwebwali busasaana abasirikale batandika okumenya enzigi era nemanya nti nange mu room mwenali baali bakutuuka. Kyenakola nateeka wallet, essimu zange wamu ne ssente zenali nfunye okuva mu show ku Sunday nenziteeka mu stocks.

Mukaseera katono omusirikale yakuba oluggi lwa room mwenali omutayimbwa era lwaggwa munda era netogoolekanya, bwatyo nalagira banne mu Luswayiri, era awo omu weyagirayo Pistol naginteeka ku mutwe nandagira okufukamira, nawanika emikono wagulu era mba sinatuuka na wansi omusirikale eyamenya oluggi nga akozesa akatayimbwa yakankuba, yali ayagala kunkuba ku mutwe wabula nenteekayo omukono era nagukuba.

Yaddamu nankuba akatayimbwa ku mutwe okumpi n’eriiso lyange eryaddyo era nengwa wansi era mu kaseera mpawekaaga bonna banjiikira nga buli omu anoonya waba akuba awayinza okunnumya ennyo. Sisobola kugamba baali bameka naye baali bangi.

Bankuba emiggo, ebikonde wamu n’okunsamba buli kitundu kya mubiri ggwange. Bankuba amaaso, emimwa, ennyindo, obukongovule n’amaviivi. Bano abasajja tebalina kisa. Nebwebaali banfulumya bagenda mu maaso n’okunkuba era oluvannyuma lw’ekiseera nalinga atakyawulira bulumi. Ebintu byebangamba nga nebyenawulira nga boogera sisobola nakubiwandiika wano. N’okutuusa leero nkyebuuza abasirikale bano besisinkanangako obukyaayi obuyitirivu gyebabujja okuntuusaako obulabe obwo bwonna.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Baguma asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’e Kigo