Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 293 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

PS Geraldine Ssali asindikiddwa mu Kkooti Enkulu

July 19, 2024 · Mubiru Ali

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu State House aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekya bambega wamu ne offiisi ya DPP batutte omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi, Geraldine Ssali Busuulwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi navunaanibwa emisango okuli okukozesa obubi offiisi, okuviirako okufiiriza Gavumenti ssente wamu nokwekobaana okubba.
Kigambibwa nti Geraldine ngakozesa offiisi ye yateeka Buyaka Growers Cooperative Society mu bibiina byobwegassi ebyalina okuliyirirwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/22, so nga tekyali ku lukalala.
Kigambibwa nti era yekobaana n’abalala nebasasula obuwumbi 3 mu obukadde 400 ezaalina okusasulwa ebibiina byobwegassi naziwa Kirya & Co. Advocates, ekyaviirako Gavumenti okufiirwa ensimbi. Ono asindikiddwa mu Kkooti Enkulu.