Mwekuume ekirwadde kya HIV/Aids – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Mukujaguza olunaku lw’akawuka akaleeta mukenenya, njagala mpeereze obubaka buno eri abavubuka ku kawuka akaleeta mukenenya. Ensangi zino okwogera ku ndwadde ezimu mu lwatu kukenderedde ddala bwokigeraageranye ne bwekyali mu dda, tekikyatwalibwa ng’ekikulu.
Bangi abavubuka batya mbuto zebatetegekedde okusinga mukenenya, obwesigwa mu bagalana bukenderedde ddala. Ku nsonga eno nkubiriza abavubuka mwenna okukola kyonna ekisoboka okwewala okukwatibwa ekirwadde kya mukenenya. Mbakubiriza okwekebeza mukenenya buli lwosobodde, wesonyiwe okwegatta bwekiba kisoboka, bwekiba tekyewalika kozesa akapiira. Beera mwesigwa eri omwagalwa wo. Fuba okulaba nti ofuna obuyambi mu bwangu singa obeera oli kukalebwerebwe kokukwatibwa nga tezinasukka ssaawa 72.” #Mwekuume
Share.

Leave A Reply