Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 129 listening Simba FM Live

Abaamasannyalaze baagala tteeka ku masannyalaze

August 7, 2016 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusaasaanya amasannyalaze mu ggwanga ekya Yuganda Electricity Transmission Company Limited kisabye olukiiko olukulu olw’eggwanga lwanguyeeko etteeka ly’amasannyalaze osanga kino kinaayambako okukomya engeri abantu gyeboonoonamu ebintu ebikozesebwa okutuusa amasannyalaze mu bitundu by’egwanga eby’enjawulo.

Ssentebe w’ebitongole kino (UETCL) William Kiryahika yalabiseeeko mu maaso g’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’obugagga obwensibo n’alojja akawonvu n’akagga ku ebyo ekitongole byekiyitamu, nti abantu abamu bagufudde mugano okukkira ebintu byebakozesa nga batambuza amasannyalaze ne babyonoona.

Ng’ali mu kakiiko kano akakukirwa omubaka Alex Byarugaba era eno gyeyannyonnyoledde ebisinga ku ebyo omuli n’ekyebbeeyi y’amasannyalaze egyekanamye so nga wabaddewo omulimu amakulu ogukolebwa ogw’okuzimba zi Ddaamu omuli eya Isimba, Karuma ne Ayago esangibwa mu bitundu by’e Nwoya.