Muwandiike amannya gammwe mbaddize ssente zammwe – Sipiika Among

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Anitah Among olunaku lw’eggulo yavudde mu mbeera natabukira Ababaka abavuddeyo nebemulugunya ku nsimbi akakadde akamu ezaggyiddwa ku buli Mubaka ku musaala gwe okudduukirira abaana abaali balabirirwa eyali Sipiika omugenzi Jacob Oulanyah.
Among yategeezezza nti kino kyabuswavu nnyo Ababaka okudda mu mawulire nebemulugunya ku kintu kyebakkiriziganyako bonna nga balinga abasaliddwako buli omu obuwumbi 10.
Ono yasabye abo bonna abemulugunya okuwandiika amannya gaabwe abaddize ssente zaabwe mu mpeke. Kinajjukirwa nti Among yayereeta ekiteeso kino ng’akabonero ak’okukungubagira omugenzi Oulanyah.
Share.

Leave A Reply