Mutebile abadde wanjawulo yadde abadde akolera Gavumenti y’abalyake – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Prof. Emmanuel Tumusiime-Mutebile, abadde musajja wanjawulo mu Byenfuna eyakola mu bifo eby’enjawulo nga tanafuuka Governor wa Bank of Uganda.
Obulamu bwa Prof. Mutebile n’emirimu birina kyebitulaga nga Bannayuganda nti tulina abantu ab’enjawulo abalungi ennyo ekyenaku nga bakolera Gavumenti yabali b’enguzi.
Wadde waliwo obuwanguzi Bank of Uganda bwetuuseeko naye tetulema kwogera kwebyo Gavumenti bweyayingirira mu mirimu gyayo okugeza Prof. Mutebile yavaayo nategeeza nga bweyawubisibwa Gavumenti okuteeka ssente mu kalulu ka 2011!
Kyanaku nti Prof. Mutebile yegasse ku lukalala lwa Bannayuganda ab’erinnya abafiiridde mu nsi endala, naddala mu Nairobi Kenya. Tewabaddewo kikoleddwa okulaba nti ebyobulamu bya Yuganda bitumbulwa, eyo y’eensonga lwaki abo abesobola balinnya ennyonyi nebagenda bafuna obujanjabi ebweru w’eggwanga. Tulina okulwana ennyo okulaba nti kino kikoma. Ku lwange, ne ku lwa NUP, tutuusa okusaasira kwaffe eri ab’ennyumba ya Prof. Mutebile. Omwoyo gwe guwummule mirembe.”
Share.

Leave A Reply