Gavumenti ereeta omusolo omuggya ku motoka ne piki piki

BULI MOTOKA NE PIKI PIKI BYAKUSASULA OMUSOLO; https://youtu.be/1TL7SfDGUjU
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byensimbi David Bahati avuddeyo nategeeza nga Gavumenti bweyagala buli Munnayuganda alina emotoka okusasula emitwalo 20 buli mwaka nga ku bimu ebirina okuvaamu ensimbi z’omwaka gw’ebyensimbi 2021/22.
Minisita Bahati agamba nti omusolo guno gugenderera kukendeeza ku motoka ezitalina bisaanyizo wamu n’okuyamba okufuna ensimbi ezinaddaabiriza nga enguudo okwetoloola eggwanga lyonna. Okusinziira ku bbago lino ab’emotoka bakusasula emitwalo 20 ate aba Piki piki bakusasula nga emitwalo 5 buli mwaka. Kati tubuuza emisolo gino emiggya girina egyenjawulo gyeginaleetawo mu buweereza okuva eri Gavumenti mu bintu eby’enjawulo?

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply