Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Munyagwa bumukeeredde

Omulamuzi Pamella Lamunu owa Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi avuddeyo nategeeza nga Kkooti eno bwetagenda kuggya misango gyabukenuzi n’okulya enguzi ku mubaka wa Kawempe South era Ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE Mubarak Munyagwa Sserunga.

Omulamuzi Lamunu yategeezezza nti Omubaka Munyagwa wakulabikako mu Kkooti eno nga 4, November abitebye. Kigambibwa nti ono bweyali akyali Meeya w’eggombolola y’e Kawempe yalya ekyojamumiro.

Omulamuzi agamba nti omusango oguvunaanibwa Munyagwa yadde gwawabibwa muntu ono gumugibwako DPP olwo eyawaaba nafuuka omujulizi kuba gwannaggomola. Ono yabadde adda mu Munyagwa eyali agamba nti DPP tasobola kumuvunaana kuba eyamuwawabira omusango yagujjamu enta.

Munyagwa avunaanibwa ebigambibwa nti mu December wa 2014 mu kifo ekimanyiddwa  nga Haks Investment Limited ku Sixth Street, Industrial Area, mu Kampala, bweyali akyali Meeya wa Kawempe Division yasaba enguzi yabukadde 100 okuva Francis Kakumba nga musuubuzi nti yali wakusendasenda akakiiko Kawempe Division urban council, okusemba mutabani we Isaac Muyanja, okulondebwa ku lukiiko lwa Kampala City Land Board.

Nti mu bbanga eryo Munyagwa yafuna obukadde 74 n’obulala 4 okukola omulimu ogwo. Munyagwa nga ayita mu Bannamateeka be aba Lukwago and Company Advocates yassaayo okusabe kwe mu Kkooti ya Ssemateeka nga awakanya emisango gino era nga tanaddibwamu.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort