Munnamateeka Male Mabiriizi akwatiddwa Poliisi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force mu Kampala evuddeyo netegeeza nga bwekutte Munnamateeka Hassan Male Mabirizi ku kiragiro kya Kkooti ekyafulumizibwa. Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti Mabiriizi akwatiddwa ettuntu lyaleero e Banda bwabadde ayingira mu Ssetendekero wa Kyambogo nga kati akuumirwa ku Poliisi ya Jinja Road nga bwebalindirira okumutwala mu kkomera.
Mabiriizi yakedde kuteekayo katambi enkya yaleero nga bwawezezza enaku 7 mu kwekweka.
Share.

Leave A Reply