Bannayuganda abaagwa mu bazigu nga bava e S.Sudan tebalabikako

Bannayuganda bana nabuli kati tebannakubikako kimunye oluvannyuma lwa Ssabbiiti ssatu eziyise Bus mwebaali basaabalira okuva mu Sudan ey’amaserengeta nga badda Yuganda okugwa mu  bazigu .

Abantu abano baali basaabalira mu Bus ya kampuni ya Friendship eyagwa mu bazigu ku ntandikwa y’omwezi guno, Mailo 43 okuva e Nimule ku nsalo ya Yuganda ne S. Sudan era nga bano bateeberezebwa okuba abayeekera ba Sudan ey’amaserengeta .

Mu bulumbaganyi buno abantu bataano baakosebwa oluvannyuma lw’omu ku bazigu okubakubamu ebyasi, wabula wano abantu abana bano webaamaliramu omusulo omwali omugoba wa Bus ne Kondakita we wamu n’abasaabaze babiri nga bonna tekuli akubikako kya mulubaale .

Webutuukidde wano nga ekibinja okuva mu magye ga South Sudan nga bakwataganira wamu ne Police y’e Juba wamu n’ekitebe kya Yuganda e Juba  baatandika omuyiggo ku ku bantu bano abatalabikako naye tegunnavaamu bibala.

Ye ayogerera Policce mu ggwanga , Andrew Fallix Kaweesi agamba nti tebannaggwamu ssuubi ku bantu bano .

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

4 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

72 4 instagram icon