Muleete Eddie Mutwe oba mufu oba mulamu – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine agamba nti ku lunaku lwebawamba omu ku bakuumi be Eddie Mutwe., waliwo ow’ebyokwerinda gwagamba nti ono alondoola ntambula ze (Bobi Wine) yaliko kwabo ababuzaawo Eddie.
Kyagulanyi agamba nti nokutuusa olunaku olwaleero tebamanyi wa Eddie Mutwe gyali nti era Bannamateeka ba NUP bagenze mu Kkooti okuteekayo okusaba kwabwe ono aleetebwa nga mufu oba mulamu.
Kyagulanyi ategeezezza nti waliwo n’abalala okuli; Mpalanyi Michael ngono yawambibwa okuva e Matugga nga 18 March, Ssentongo Shakur yawambibwa nga 18 March okuva e Jinja ne Douglas Nsambu nga bonna tebamanyiddwa gyebali.

