Breaking
News: Tulina kyetuyita okugwa mu bintu, Bika ki ebya Buganda ebyali bigudde mu bintu ku bwa Katikkiro? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya akaseerezi kafuuse akaseerezi atubira aba atumidde ne leero lindirira envuuma zabakontanyi News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya National Drug Authority NDA kyakutte abantu 2 abagambibwa nti babadde bajjingirira wamu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,349 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Bbaasi za Jaguar ziyimiriziddwa okusaabaza abantu

September 13, 2024 · Mubiru Ali

Minisitule y’ebyentambula eyimirizza Bus za Kampuni ya Jaguar obutaddamu kusaabaza abantu okumala ebbanga lya naku kumi kisobozese Gavumenti okwongera okwekennenya omutindo gwabavuzi wamu ne bbaasi za kkampuni eno.

Kino kiddiridde obubenje obweyongedde ku nguudo nga n’akakasembayo ke kabenje akagudde e Kabaale-Bugonzi ku luguudo oluva e kampala okudda e Masaka ku ntandikwa ya sabiiti eno bbaasi ya kkampuni ya Jaguar nnamba.UBP 964T eyali eva e Kampala ngedda e Kigali bweyalemerera omugoba waayo neyingirira FUSO okukakkana nga abantu abawera munaana bafiiriddewo nabalala nebasimattuka n’ebisago.

Minisita omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama asinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire lwatuzizza ku offiisi ye mu Kampala, nategeeza nga Minisitule bwesazeewo okusooka okuyimiriza bbaasi zino obutaddamu kusaabaza bantu okumala ebbanga lya nnaku kkumi kuno n’ebweru w’Eggwanga wadde okugivuga okugitwala mu Garage bamale okwekennenya byonna ebyetaagisa era nga ekiragiro kino kyakutandikirawo olwaleero.

Bya Barbara Nabukenya

#ffemmwemmweffe