Mukoka atutte abantu 3 e Kisoro

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu basatu tebakubikako kimunye mu Disitulikiti y’e Kisoro oluvannyuma lwa namuttikkwa w’enkuba eyafudembye mu Disitulikiti eno  akawungeezi akayise. 

Omu ku batakubikako kimunye y’omukadde Thereza Nyirabachengera ow’emyaka 52 nga mutuuze mu ggombolola y’e Buchimbiri

Omu ku batuuze boomu kitundu ekyo agamba nti omukadde ono yatwaliddwa mukoka eyabadde akuluggukira ku misinde egya yiriyiri era nga yasangiddwa nga akungula bummonde bwe.

Ye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kisoro,  Abel Bizimana agamba nti ate bo abaana ababiri mukoka yabatwalidde mu ggombolola y’e Nyakabande. Kitalo!!

 

Share.

Leave A Reply