Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 227 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Mukiririze mu betulonze – abakulira NUP e Kayunga

October 21, 2021 · Mubiru Ali
Abakulembeze ba National Unity Platform mu Disitulikiti y’e Kayunga basabye bakama baabwe okuva ku kitebe ekikulu eky’ekibiina kino e Kamwokya baleme kwawukana n’ekyo ky’ebasazeewo ku muntu ki asaanidde okukwasibwa bendera ya NUP avuganye mukudamu okulonda Ssentebe omuggya owa LC5 owa Disitulikiti eno ey’e Kayunga oluvanyuma lweyali Ssentebe omugenzi Ffeffeka Mohammad Sserubogo okufa.
Bano bagamba nti ku mulundi guli mu kulonda kwabonna okwaliwo ku ntandikwa y’omwaka 2021, ekitebe kyabwe kyawa Kkaadi z’ekibiina kino eri abantu abataalina buganzi mu bantu.