Muka omulabirizi we Mityana eyawummula, Wilson Mutebi aziikiddwa.

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Muka omulabirizi we Mityana eyawummula, Wilson Mutebi aziikiddwa.
Mukyala Faith Nagawa Mutebi yavudde mu bulamu bwensi eno oluvannyuma lwokutawaanyizibwa ekirwadde eky’amangu.
Obwakabaka bukiikiriddwa Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu n’Ensonga za Buganda Ebweru, Oweek Joseph Kawuki era yatuusizza Obubaka bw’obwakabaka.
Mu bubaka bwataddeko omukono, Katikkiro Charles Peter Mayiga ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayagala ennyo Ekika kye era abadde ajjumbira enkiiko z’Ekika wamu n’okuwagira enteekateeka z’enkulaakulana mu Kika kye.
Katikkiro Yeebazizza omugenzi olw’okuwanirira Omulabirizi Wilson Mutebi mu buweereza bwe obw’omulabirizi okutuusa Katonda lwamuyise.
Omulabirizi Wilson Mutebi yeebazizza Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka olw’okumubeererawo mu kiseera kino ekizibu.
Share.

Leave A Reply