97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Mugenda kunnyonyola lwaki mwagulira Uganda Airlines ennyonyi enkadde – Hon. Medard Lubega Sseggona (COSASE)

Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akolondoola emirimu egikolebwa ebitongole bya Gavumenti aka COSASE bawuunikiridde olunaku lweggulo bwebategeezeddwa nti emu ku nsonga eviirako Kkampuni y’Ennyonyi eya Uganda Airlines okuba nga tekola magoba kwekuba nti ennyonyi ezaagulibwa nkadde nnyo ngokufuna sipeeya waazo si kyangu.
Omubaka wa Kashari South Nathan Itungo agamba nti Uganda bweyagenda mu katale okugula nga waliwo kkeeki n’amandaazi, Uganda mu kugula ennyonyi yagula mandaazi kuba gesobola nga kati ennyonyi tebasobola kuzifunira sipeeya kuba bagula nkadde ezitakyakolebwa. Ono agamba nti ezimu ziyinza okuba nga zaali za lutalo mu Russia.
Ye Ssentebe wa COSASE Medard Lubega Sseggona agamba nti abamu bwebawulira erinnya bombardier bandiba nga balowooza nti kinene nnyo nebatamanya kyebagenda kugula. Sseggona agamba nti abakungu okuva mu Uganda Airlines babategeezezza nti ensimbi ezagula ennyonyi zino tezisobola kuvaayo zonna mu bbanga ennyonyi zino lyezisigazza okubeera nga zikyakirizibwa okusaabaza abantu kuba zaali nkadde
Bamuturaki yategeezezza akakiiko nti ne kkampuni ya Lufthansa Technik ebadde eguza Uganda sipeeya w’Ennyonyi CRJ zerina yategeezezza nga bwetagenda kuddamu kukola sipeeya oyo ngate ne kkampuni ya Bombardier eyalibadde ebayamba yagulibwa Kkampuni ya Mitsubishi.
Wano Ssentebe wa COSASE weyategeerezza nti bagenda kuyita buli eyali emabega wokugula ennyonyi zino annyonyole kuba baali bakimanyi bulungi nti kkampuni ya Bombardier yali egenda kuggalawo.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply