Mpuuga genda mu kkomera okumala emyaka 5 oba sasula engasi – Kkooti
Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi mu Kampala olunaku lweggulo yasingisizza eyali Ssentebe w’Akakiiko k’emirimu owa Disitulikiti ye Rakai Mpuuga David era nemuwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 5 oba okusasula engasi ya bukadde 7 mu emitwalo 20 lwakusaba nguzi okuva ku bantu abali basaba emirimu ku Disitulikiti e Rakai.
Kigambibwa nti ono yasaba obukadde 20 okuva ku muntu eyali asaba omulimu gwa Agricultural Officer.
Mpuuga yasaba ateese era naliyirira omuntu gweyasaba ssente obukadde 30. Mpuuga takirizibwa kukola mulimu gwonna gwa Gavumenti okumala emyaka 10.
Akakiiko okuva mu makaga g’omukulembeze w’Eggwanga akalwanyisa enguzi kagamba nti katandise okunoonyereza ku bukiiko bwa Disitulikiti obugaba emirimu okwetoloola Eggwanga era nga abakakwatibwa kuliko aba Disitulikiti y’e Mpigi ne Gomba.
Bya Christina Nabatanzi

