Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala alambudde Amasiro ga Ssekabaka Namugala e Kitala Muyomba mu Busiro.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala alambudde Amasiro ga Ssekabaka Namugala e Kitala Muyomba mu Busiro.
Owek. Wamala asanyukidde nnyo omulimu gw’okuyoyoota amasiro gano mu ngeri ey’omutindo ky’agambye nti kyakwongera okwagasiza abantu ennono yaabwe. Asinzidde wano n’asaba Abalangira okunyweza obukulembeze mu Lulyo Olulangira okusobola okufuna enkulaakulana ey’omuggundu.
Jjajja w’Olulyo Olulangira, Omulangira Basajjansolo Luwangula akubirizza Abalangira n’Abambejja okukuuma ebifo by’ennono obutiribiri bireme kutundibwa oba kwonoobebwa, era abasabye n’Abaana baabwe okubayigiriza Obuwangwa n’Ennono zaabwe kiyambeko okwongera okunyweza olulyo Olulangira.
Ssekabaka Namugala Mwanga I yali Kabaka wa Buganda mu myaka gya 1760.

