Minisita Kibuule ayitiddwa mu kkooti ku by’ettaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omuwandiisi  wa kkooti enkulu e Mukono Flavia Nabakooza  alagidde Minisita w'ensonga z'amazzi ate nga ye mubaka akiikirira abantu ba  mukono ey'amambuka mu Palamenti , Ronald Kibule wamu n'oluuyi lwa Namasole okulabika mu  kkooti nga ennaku z'omwezi 9 omwezi Museenene omwaka guno okutandika okuwulira omusango ogubavunaanibwa. 

Flavia asoose kwetondera kkooti oluvannyuma lw'abatuuze b'e Kigaya  okuggya ku kkooti olw'okutaano lwa ssabbiiti ewedde  wabula newatabaawo kuwulirwa kwa musango gwabwe gwebaawawaabira minisita ono nategeza nti yadde banalabikako eri kkooti oba nedda bakugenda mumaaso nokuwulira omusango.

Wabula bo abatuuze omubadde ne bannamukadde abatemera mu myaka 90 balabiddwako nga bibasobedde oluvannyuma lwa kkooti okutwala akaseera nga balindirira oluvannyuma n'etuula wabula enjuyi ezawawaabirwa obutalabikako mu maaso g'omulamuzi.

Banno balumye n'ogwengulu nebategeeza nti sibaakukoowa kwewuuba mu kkooti newankubadde Minisita Kibule agaanye okujja mu kkooti era nebagamba nti bassasaanya ensimbi nnyingi mu ntambula okuva e Kigaya okutuuka ku kkooti ezisoba mu 500,000. 

 

Share.

Leave A Reply