Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 347 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Gavumenti egamba nti General Oketta yafudde musaayi kwekwata mu mawuggwe

November 7, 2016 · Mubiru Ali

Gavumenti evuddeyo n’etegeeza nti ekyaviiridddeko Major General Julius Oketta okufa kyabadde musaayo kwekwata mu mawuggwe .

Ng’ayogerako mu lutuula lwa Palamenti olw’enjwulo ku kukuba eriiso evvannyuma wamu n’okukubaganya ebirowoozi ku mirimu gya Major General Oketta, olukubiriziddwa Omumyuka w’omukubiriza wa Palamwenti Jacob Oulanya, Ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda ategeezezza Palamenti nti ekyaggye General Oketta mu bulamu bw’ensi eno gwe musaayi okwetugga mu mawuggwe . Wano Ssaabaminisita w’asinzidde okusukkulumya obuweereza bwe .

Ye akulira oludda oluvuganya Gavumenti , Omukyala Winnie Kiiza atendereza General Oketta nga omusajja abadde ow’eddembe mu mbeera zonna .

Maj. General Oketta yali mubaka mu Palamenti eyoomunaana n’e yoomwenda nga akiikirira UPDF ย nga kati w’afiiridde abadde amyuka Ssentebe w’enteekateeka ya Operation Wealth Creation .