Owa NUP e Kayunga ku bwa LC5 NRM yeyamuteekawo – Mao

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao; “Kiki ekyatuuka ku musango National Unity Platform – NUP mweyali ewakanyiza ebyava mu kalulu ka Ssentebe wa LC5 e Kayunga? Oba amazima gakibikka!? Mbuuza ku lwa Bannakibiina kya NUP abaweddemu essuubi. Tukimanyi bulungi nti eyakwatira NUP bendera yateekebwa National Resistance Movement – NRM ssente okulwanyisa Nantaba!”
Hon. Nakweede Harriet kafeero eyakwatira NUP bendera amwanukudde; “Mw. Mao olumu wagamba nti enkima gyekoma okuwalampa omuti gyekoma okukunama. Kino kyokoze kyennyini era kikutuukiddeko. Gyokomye okulya ssente za nakyemalira gyokomye okutulaga nti tuli wa ludda luvuganya Gavumenti. Weebale kutulaga gyogwa.”
Share.

Leave A Reply