Micho emisango gyemusse mu vvi

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Milutin Sredojevic aka Micho olunaku olwaleero asingisiddwa omusango gwa sexual assault. Munnansi wa Serbia avunaaniddwa mu Kkooti ya Gqeberha Regional, e South Africa, olwaleero era nasingsibwa emisango ebiri.
Micho ekibonerezo kyalina okufuna kyakusibwa emyaka 3 wamu n’obutenyigira mu byamizannyo okumala emyaka 5. Bannamateeka be basabye bakirizibwe okujulira.
Okusinziira ku kibiina ekitwala omupiira ogwe bigere mu Ggwanga ekya FUFA, kigamba nti Micho yasaba akirizibwe abeeko ensonga zagenda okumaliriza e South Africa.
Federation of Uganda Football Associations (FUFA) egamba nti ettuntu lyaleero bategeezeddwa nti ensonga gyabaddeko agimalirizza mu kaseera kano nti era Micho akomawo addemu emirimu gye egyobutendesi.
Okusinziira ku mukutu gwa mawulire ogwa HeraldLIVE e South Africa, gugamba nti Micho omusango yaguzza mu mpaka za 2021 U21 African Cup of Nations qualifiers, bweyali omutendesi wa ttiimu y’eggwanga lya Zambia.
Omukyala ow’emyaka 39, yavaayo nategeeza nti Micho yamukwata ku kabina wamu n’okumerekereza ebigambo ebyobuseegu. Kigambibwa nti omukyala ono yali amuleetedde kakaawa bweyali alaba omupiira nti era nabuuza Micho nti oba yali yetaaga sukaali. Kigambibwa nti Micho yategeeza omukazi nga bwayagala ekika kya sukaali omulala nti era nasonga ku bitundu by’omukyala eby’ekyaama nabikwatanako.
Video Credit: HeraldLIVE
Share.

Leave A Reply