Male Mabiriizi ayagala bamuwe Driving Permit ya Pulezidenti Museveni

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Munnamateeka Male Mabiriizi Kiwanuka awandiikidde Minisitule y’ebyenguudo n’entambula nga ayagala amuwe kkopi ya Driving Permit ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Mu bbaluwa Mabiriizi gyeyawandiise nga 24-January-2022 yawandiikidde Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule eno ngamusaba amuwe Driving Licence ya Pulezidenti Museveni etaggwangako.
Mabiriizi agamba nti nga Munnayuganda ngakozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka mu kawayiro (1) (d) akirizibwa okukuuma ebintu by’Eggwanga ate n’eddembe lyobuntu erimuweebwa akawayiro 41 mu ssemateeka wa 1995 mu kitundu ekyokutaano nti alina okuweebwa ebikwata ku bantu abali mu offiisi za Gavumenti, alabye Pulezidenti Museveni enfunda eziwera nga avuga emotoka ya Gavumenti so nga talina kugivuga kuba takirizibwa kufuna Driving Permit olwobuzibu bwokulaba bwayinza okuba nabwo olw’emyaka.
Mabiriizi agamba nti kizuulibwa nti alina Driving Permit kiba kitegeeza nti abeera azizza omusango mu kawayiro 58(1) ak’etteeka lya Traffic and Road Safety Act erigamba nti omuntu eyagaanibwa okufuna Permit bwasangibwa nga agirina abeera azizza omusango.
Ate singa osangibwa ng’ovuga emotoka nga tolina permit mu kawayiro 35(1) aka Traffic and Road Safety Act osibwa emyezi 6.
Share.

Leave A Reply