Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 193 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Mabiriizi ogira obeera mu kkomera naye obukadde 300 tobusasula – Mulamuzi Madrama

February 25, 2022 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti Ejjulirwamu mu Kampala omulamuzi Christopher Madrama agaanyi okuyimiriza ekiragiro kyokusiba Munnamateeka Male-kiwanuka Mabirizi emyezi 18 of nga agamba nti tewali kujjulira kwonna kuli mu maaso ga Kkooti okuwakanya ekiragiro kyokumukwata okumutwala mu Kkomera.
Omulamuzi agamba nti nolwensonga eyo Kkooti terina bayinza mu kaseera kano buyimiriza kiragiro kya Kkooti Enkulu kuba tewali kusaba kwateereddwayo mu butongole.
Omulamuzi asazizzaamu ekya Mabirizi okusasula obukadde 300.
Mabiriizi yegayiridde omulamuzi addemu atunule mu nsala ye nga agamba nti ye Munnayuganda owawansi atalina ppaasippooti nga tajja kwebulankanya nga ayagala ekibonerezo kigira kiyimirizibwa.